Essuula 24 — Obunnabbi Obulala Obwatuukirira
GSAM 376.1“Kale mulowooze okuva ku lunaku luno n'okweyongerayo, okuva ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwezi ogw'omwenda, okuva ku lunaku omusingi gwa yeekaalu ya Mukama lwe gwateekebwawo, mukirowoozeeko. Ensigo ekyali mu ggwanika? Weewaawo, n'omuzabbibu, n'omutiini, n'omukomamawanga, n'omuzeyituuni tebinnabala bibala: okuva ku lunaku luno nnaabawangako omukisa.”1
GSAM 376.2Enkulaakulana ennywevu era etasalako ey'obubaka bwa malayika ow'okusatu okuva lwe bwatandika eyinza okugeraageranyizibwa obulungi n'omukisa ogwagoberera Zerubbaberi okuva ku lunaku lwe yateeka ejjinja ery'omusingi gwa yeekaalu.
GSAM 376Omulimu Ogwalabika ng'Oguzibu Ennyo
GSAM 376.3Abayudaaya bwe baayitibwa okuzimba yeekaalu ya Mukama nga tebalina ssente wadde emmere mu mawanika, mu maaso g'abantu kyafaanana omulimu omuzibu ennyo. Bwe baagondera okuyitibwa n'okukkiriza, ne bakwata omulimu n'omutima ogwagala, omukono gwa Katonda oguwa omukisa gwabalabikira. Bwe tugoberera ebyaliwo mu ntandikwa y'obubaka bwa malayika ow'okusatu, tulaba omukono oguluŋŋamya nga guli n'abo abalonda ekkubo lye. Newakubadde nga balina ebibonyoobonyo, okulabirira kwa Katonda eri abantu be n'omulimu gwe bulijjo kweyoleka eri abo abamwesiga.
GSAM 376Obujulizi Obunnyonnyola Empisa z'Abantu
GSAM 376.4Nga 24 Novemba 1862, enkuŋŋaana bbiri zaaliwo mu ssaawa y'emu mu nnyumba ya William Wilson, ow'e Greenville, Michigan, okutandikawo amakanisa abiri ag'abo abaali bakkirizza amazima ga Ssabbiiti mu kitundu ekyo. Olukuŋŋaana olw'ekkanisa y'e Greenville lwakulemberwa Omusumba White ne mukyala we mu kisenge kimu, ate Omusumba Byington nange ne tukulembera olukuŋŋaana olw'ekkanisa y'e West Plains mu kisenge ekirala. Bwe twali tukola emirimu egy'okusooka mu kisenge ekimu, twawuliranga eddoboozi lya Mukyala White ng'awa obujulizi bwe mu kisenge ekirala. Twali tusanze ebizibu mu mulimu gwaffe, awo mu kiseera kyennyini ekyali kituufu Mukyala White n'aggulawo oluggi n'agamba nti, “Ow'oluganda Loughborough, bwe ntunuulira ekibiina kino ndaba nga nnina obujulizi obukwata ku bantu abamu abali wano. Bwe munaaba mweteeseteese, nja kujja njogere.” Ekyo kye kyali ekiseera kyennyini kye twali twetaagiramu obuyambi, era n'ayingira. Ng'oggyeeko Omusumba Byington nange, yali amanyi amannya g'abantu basatu bokka mu kisenge. Abalala yali tabamanyi, era yali tabalabangako, okuggyako nga bwe baali bamulaze mu kwolesebwa.
GSAM 377Obulamu bwa Mwami Pratt Bunnyonnyolwa
GSAM 377.1Bwe yayimirira okwogera, yagamba nti: “Mujja kunsonyiwa bwe nnaaba ntegeeza bye nnina okwogera nga nnyonnyola endabika yammwe, kubanga simanyi mannya gammwe. Bwe ndaba obwenyi bwammwe, bye Mukama yasiima okundaga ebibakwatako bijja mu maaso gange. Omusajja oyo ali mu nsonda alina eriiso limu [omuntu omu n'agamba nti, ‘Erinnya lye ye Pratt’] ayogera ebigambo binene eby'okukkiriza era yeeraga nnyo ng'omuntu w'eddiini, naye tannakyuka. Temumuyingiza mu kkanisa ng'akyali mu mbeera eno, kubanga si Mukristaayo. Amala ekiseera kye kinene ng'atayaayiza mu bifo eby'emirimu ne mu maduuka, ng'awakana ku njigiriza y'amazima, nga mukazi we awaka ye ateekwa okwatula enku, okulabirira ennimiro, n'ebirala. Mu ndagaano ze asuubiza by'atatuukiriza. Baliraanwa be tebeesiga bigambo bye eby'eddiini. Kyandibadde kirungi eri omulimu gw'eddiini singa mu mbeera ye eno tasooka kugyogerako.”
GSAM 378Ow'oluganda Barr Asanyusibwa
GSAM 378.1Yeeyongera n'agamba nti, “Ow'oluganda ono omukadde [bwe yamusongako, omuntu omu n'agamba nti, ‘Ow'oluganda Barr’] yandagebwa ng'ayawukana ddala n'omusajja oli. Obulamu bwe kya kulabirako kirungi nnyo, yeegendereza okutuukiriza byonna by'asuubiza, era alabirira bulungi ab'omu nnyumba ye. Tatatera kuguma kwogera ku mazima eri baliraanwa be, ng'atya nti ayinza okwonoona omulimu n'okuleeta obulabe. Talaba nga Mukama ayinza kuba wa kisa nnyo bw'atyo okumusonyiwa ebibi bye, era yeeraba ng'atasaanira na kuba wa mu kkanisa.” Awo n'amugamba nti, “Ow'oluganda Barr, Mukama yandagira okukugamba nti wayatula ebibi byonna bye wali omanyi, era nti yakusonyiwa dda ebibi byo; kyetaaga kubikkiriza kyokka.” Ennaku eyali erabika ku maaso g'ow'oluganda n'eggwaawo mangu. Yayimusa amaaso ng'amwenya, n'abuuza n'omutima omwangu nti, “Yansonyiwa?” “Weewaawo,” Mukyala White n'addamu, “era nnalagirwa okukugamba nti, ‘Jjangu weegatte ku kkanisa; era bw'ofuna akakisa, yogera ekigambo ekiwagira amazima; kijja kuvaamu ekirungi, kubanga baliraanwa bo bakwesiga.’” N'addamu nti, “Nja kukikola.”
GSAM 378.2Awo n'agamba nti, “Singa Mwami Pratt amara ekiseera ng'ali mu mbeera efaanana n'eyo Ow'oluganda Barr gy'abaddemu, kyandimuganyudde.”
GSAM 378.3Bwe kityo ekimu ku byali bituleetera obuzibu mu kuteekawo enteekateeka y'ekkanisa kyaggibwawo. Nga tannawa bujulizi bwe, twali tetusobola kukkirizisa Mwami Barr kwegatta ku kkanisa; ate ku ludda olulala, twasanga nga kumpi buli muntu awakanya okuyingiza Mwami Pratt; naye tewaali n'omu eyali aguma kwogera nsonga lwaki awakanya.
GSAM 378Obuggya mu Maka Buwonyezebwa
GSAM 378.4Yaddako okwogera n'omusajja eyalina olususu olwa kitaka ekitangaavu, eyali atudde ku ludda olumu olw'ekisenge; oluvannyuma n'asonga ku mukazi eyalina obwenyi obukkovvu eyali ku ludda olulala ddala, n'ayogera nabo ng'omwami ne mukyala we. Yannyonyola ebintu ebimu ebyaliwo mu bulamu bwabwe obw'edda, nga tewannabaawo n'omu ku bo eyali ayogedde nti akkirizza amazima. Yagamba nti Setaani yali azimbulukkusizza ebintu ebyo mu birowoozo by'omukazi okutuusa lwe byamuleetera okudduka eddalu. Mukyala White yagamba nti, “Nnalaba ng'omukazi ono yali amaze omwaka gumu mu ddwaliro ly'abalwadde b'eddalu; naye oluvannyuma lw'okuddamu amagezi, akkirizza obuggya buno bwe bumu okweraliikiriza omutima gwe, ekinakuwaza ennyo bba, akoze kyonna ky'asobola okulaga mukyala we nga mwesigwa gy'ali, era nga talina nsonga ya kumwesamba bw'atyo bw'akola.”
GSAM 379.1Amangu ago omukazi n'asala ekisenge ng'adduka, n'afukamira n'asaba bba amusonyiwe. Abantu abo baali kumpi bagwira mu kitundu ekyo eky'ensi, era eby'obulamu bwabwe obw'edda tebyali bimanyiddwa. Kyokka abo abaali babamanyi okusinga abalala baali bamanyi nti baali tebakwatagana, naye nga tebamanyi nsonga.
GSAM 379Ekifaanana n'ekya Erisa ne Kazayeeri
GSAM 379.2Mukyala White bwe yamala okuwa obujulizi bwe, omulimu gw'okuteekawo enteekateeka y'ekkanisa gwaggwa mangu. Mwami Barr yeegatta ku kkanisa n'omutima gwe gwonna, ate Mwami Pratt teyaayingizibwa. Olukuŋŋaana nga lwakaggwa, ono ow'oluvannyuma n'ayogera n'obusungu obungi nti, “Mbakakasa nti tekigasa kugezaako kutambulira wamu n'abantu bano ng'oli munnanfuusi; toyinza kukikola.”
GSAM 379.3Okunnyonnyola empisa z'omuntu, nga bwe kyali mu kyokulabirako ekyo waggulu, kutujjukiza nnyo ekintu ekifaanana bwe kityo ekyawandiikibwa mu nnaku za nnabbi Erisa:2 Benikadadi, kabaka w'e Busuuli, yali atumye omuweereza we Kazayeeri eri Erisa okubuuza obanga aliwona obulwadde bwe. Erisa yali afunye okwolesebwa okukwata ku Kazayeeri, era omusajja bwe yajja mu maaso ge, n'amutunuulira mu maaso, byonna ne bijjukirwa bulungi mu birowoozo bye.
GSAM 379Omusumba White Akubwa Obulwadde Obw'Okusannyalala
GSAM 379.4Ku Lwokusatu, nga 16 Agusito 1865, Omusumba White yakubwa obulwadde obw'okusannyalala olw'okukola ennyo n'obutafuna tulo tumala. Kubanga ebitongole by'eby'obulamu mu bantu baffe byali tebinnatandikibwawo, yatwalibwa e Dansville, New York, mu kitongole ky'eby'obulamu ekyayitibwanga “Amaka Gaffe ku Kabbali k'Olusozi.” Mukyala we n'omuwandiisi ono twali naye eyo okuva nga 14 Ssebutemba okutuuka nga 7 Desemba. Kubanga obujjanjabi obwamuweebwa mu kitongole bwamuwewulako katono, twagenda mu maka agaali gatusanyukira aga Bradley Lamson, e Lake View, Rochester, New York, ne tumalayo kumpi wiiki ssatu. Wano twasanyuka okusisinkana Omusumba J. N. Andrews, eyali yaakakomawo mu kibuga ekyo oluvannyuma lw'okumala emyezi egiwerako e Maine.
GSAM 380Okusabira Omusumba White
GSAM 380.1Ab'omu maka g'Omusumba Andrews n'aga Mwami Orton beegattanga naffe buli lwaggulo mu kiseera eky'okusaba awamu n'Omusumba White era n'okumusabira. Kino kyagenda mu maaso okutuusa nga 25 Desemba. Ensi ey'ebweru bwe yali ejjudde essanyu n'embaga ku lunaku olwo olwa Ssekukkulu, ekkanisa y'e Rochester yo yalukwata ng'olunaku olw'okusiiba n'okusabira Omusumba White. Twalina enkuŋŋaana ku makya n'olwaggulo mu nnyumba y'Omusumba Andrews, ku luguudo New Main, era akawungeezi abo abaali basabiranga awamu n'Omusumba White ne baddamu okukuŋŋaana naye mu nnyumba ya Mwami Lamson.
GSAM 380Okwolesebwa Okwaweebwa mu Kiro kya Ssekukkulu
GSAM 380.2Olukuŋŋaana olw'akawungeezi ako lwali lwa maanyi. Omusumba White yaweebwa omukisa munene, era Mukyala White n'aweebwa okwolesebwa okw'ekitalo, mwe yalagirwa ebintu bingi. Mu byo mwalimu ebiragiro eri Omusumba White ku ngeri ey'okugenda mu maaso ng'akolera ku kukkiriza kwe eri Katonda, eyali ayolese bulungi nti agolodde omukono gwe okumukolera asobole okuddamu obulamu bwe.
GSAM 380Obulumbaganyi bwa Setaani Bulangirirwa nga Tebunnabaawo
GSAM 380.3Eri abo abaali basabira Omusumba White, Mukyala White yagamba nti:
GSAM 380.3“Ekigendererwa kya Setaani kyali kya kuzikiriza baze n'okumussa mu ntaana. Olw'okusaba kuno okw'amaanyi, obuyinza bwe bumenyeddwa. Ndagiddwa nti Setaani asunguwalidde ekibiina kino ekimaze wiiki ssatu nga kisabira nnyo omuweereza wa Katonda ono, era kaakano amaliridde okubalumba n'amaanyi mangi. Nnalagirwa okubagamba nti, ‘Mubeerenga kumpi nnyo ne Katonda, mulyoke mweteekereteekere ekyo ekiyinza okubatuukako.’”
GSAM 381J. T. Orton Awulira ng'Akabi Kamusembedde
GSAM 381.1Ku lunaku olusooka olwa Janwali 1866, Omusumba White n'ab'omu nnyumba ye baasimbula n'eggaali y'omukka okugenda e Battle Creek, Michigan Nze nnasigala mu bugwanjuba bwa New York ennaku ez'ekiseera eky'obutiti ezaali zisigadde. Okuva ku kawungeezi kennyini okwolesebwa kwe kwaweerwako, Mwami J. T. Orton yawuliranga mu mutima gwe nti obulamu bwe bwali mu kabi, kyokka nga tamanyi kabi ako gye kandivudde. Kino yakitegeeza abantu abawerako. Ku kawungeezi k'olunaku olusooka mu wiiki, nga 4 Maaki, yakomawo e Rochester okuva e Parma, gye yali agenze mu lukuŋŋaana olw'ennaku bbiri, ng'ali wamu ne Mwami E. B. Sanders (kaakano, mu 1905, abeera e San Jose, California). Yamusaba banywerere ku luguudo olusinga okuba n'ekitangaala nga batambula mu kibuga, kubanga yagamba nti, “Mpulira buli kiseera ng'alinga waliwo omuntu agenda okugezaako okunzita.” Kyokka teyalabika ng'alina ky'amanyi ku ani eyali ayagala okumutta.
GSAM 381.2Nnakomawo e Rochester okuva e Parma nga 7 Maaki, ne nsula ewa Mwami Lamson, eyali awasizza muwala wa Mwami Orton. Ku lunaku olwa 8, ye ne Mukyala Orton baatukyalira, ne tuteekateeka okugenda enkya eyaddako n'eggaali y'omukka e Lancaster, mu ssaza ly'e Erie, gye nnali ŋŋenda okugatta omwana we omulenzi omu yekka mu bufumbo. Twamala olunaku nga tuli basanyufu, naye era lwali lunaku lwa kwegendereza n'okufumiitiriza.
GSAM 381Okuttibwa kwa J. T. Orton
GSAM 381.3Baava ewa Mwami Lamson ku 5 P.M., era ku 7:30 P.M. omubaka n'ajja n'atutegeeza nti Mwami Orton yali alumbyiddwa mu ngeri ey'obukambwe omuntu atamanyiddwa, mu ggwanika lye lyennyini bwe yali alabirira embalaasi ze. Twayanguwa okugenda mu kifo ekyo, ne tusanga ng'akubiddwa bubi nnyo ku mutwe n'omuti gw'eggaali ogwali gusibiddwako ekyuma, era nga tategeera. Yafa ku 12:35 mu kiro ekyo. N'okutuusa leero tekimanyiddwa ani eyakola ekikolwa ekyo eky'obukambwe. Ddala tekyakolebwa lwa ssente, kubanga essaawa ye eyali mu nsawo ye teyatwalibwa, era n'akasawo ke akaalimu $45 tekakwatibwako. Kino kyali kikangabwa kya maanyi eri Mukyala Orton, era teyaddamu kuwona ebyakivaamu. Obulamu bw'omubiri gwe bwagenda bwangu nga bunafuwa, era teyawangaala nnyo oluvannyuma lw'okufa kwa bba.
GSAM 382Ekyalangirirwa ku Ssekukkulu Eyo Kituukirira
GSAM 382.1Mu myezi mitono okuva ku kawungeezi ka Ssekukkulu ako akatajja kwerabirwa, mukaaga ku abo omwenda abeegatta mu kusaba okumala wiiki ezo essatu baali mu ntaana zaabwe. Bwe kityo ekirala ekyalangirirwa ne kituukirira mu ngeri eyeewuunyisa ennyo.
GSAM 382Obuyambi eri Oyo Eyaggwaamu Essuubi
GSAM 382.2Ku makya ennyo nga 12 Desemba 1866, Elias Stiles, ow'e North Liberty, Indiana, yajja ewange, n'ansaba ŋŋende naye mu kifo ekyo okuyamba, bwe kiba kisoboka, James Harvey, eyali aggwaamu essuubi ng'alowooza nti mu mbeera ye temukyali ssuubi lyonna. Kubanga nnali mmanyi nti Mukyala White yali alabye ebintu bingi nnyo mu kwolesebwa kwe okwasembayo, era nti yalagibwa embeera z'abantu bangi mu ngeri ey'obunnabbi, nnamugamba nti, “Kiyinzika okuba nti Mwannyinaffe White yalaba ekintu ekikwata ku mbeera ye, era bwe kiba bwe kityo, bw'anaakiwandiika, kijja kuba n'amaanyi okusinga ekigambo kyonna kye nnyinza okumugamba.”
GSAM 382.3Amangu ago twagenda okumukyalira, era nga tetunnamugamba kigambo kyonna ku mbeera ya Mwami Harvey, nnamubuuza nti, “Mwannyinaffe White, mu kwolesebwa kwonna kw'oweereddwa, waliwo ekitangaala kyonna ky'ofunye ku mbeera y'Ow'oluganda James Harvey?” Yaddamu nti, “Weewaawo, nnakifuna, era mmaze ennaku ntono nga mpulira nti nsaanidde okukiwandiika nkimuweereze.” Awo n'atandika okututegeeza bye yali alabye. Nnamugamba nti, “Ŋŋenda kumulaba enkya, era bw'onoowandiika ebyakulagibwa, nja kubimutwalira.” Bwe twamala okutegeeragana tutyo, twamuvaako, ne tuddamu okumukyalira akawungeezi. Yali amaze okuwandiika, era yatukolera ekisa n'atusomera bye yawandiika mu ddoboozi ery'omwanguka.
GSAM 383Obujulizi eri James Harvey mu Kuggwaamu Essuubi
GSAM 383.1Obujulizi bwalaga bulungi nti Mwami Harvey yandituusiddwa mu mbeera y'obulamu ennafu, era nti Setaani yandigezaako okumussa mu kuggwaamu essuubi n'amuleetera okulowooza nti tewali kusaasira gy'ali era nti tewali ssuubi mu nsonga ye; naye yalaba nti yali akoze kyonna kye yali asobola okutereeza ensobi z'obulamu bwe obw'edda, era nti Katonda yali amusonyiye; ate era, bwe yandikemeddwa okwetta, yalagibwa nti bamalayika ba Katonda baali bamwetoolodde nga bamulaga okusuubira Katonda n'eggulu. Mu bujulizi mwalimu ebigambo bingi eby'okumubudaabuda n'okumugumya.
GSAM 383.2Nga nnina ebbaluwa eno, twagenda enkeera ku makya e North Liberty. Mu kkubo, Mwami Stiles yantegeeza nti Mwami Harvey yali ayagala okundaba, naye n'agamba nti nnali sirina kigambo kya ssuubi kye namugamba; nti bwe nandimusisinkanye, nnandikkiriziganye naye nti ensonga ye teyalina ssuubi, nti yali muntu eyabula; era oluvannyuma, okufaanana ne Eli ow'edda bwe yategeezebwa nti essanduuko ya Katonda ekwatiddwa, yandigudde mabega n'afa.
GSAM 383.3Twatuuka awaka wa Mwami Harvey nga ssaawa mwenda ez'olweggulo. Bwe namusisinkana, namugamba nti, “Ow'oluganda Harvey, oli otya?” Mu ddoboozi erijjudde ennaku ennyingi n'anziramu nti, “Nabula! Nabula!! NABULA!!!” “Nedda! Tobadde obula. Mu nsonga yo mulimu essuubi!” bwe namugamba. Bwe yalaba bwe namuddamu bwe ntyo, n'agamba mu ddoboozi erikkakkamu nti, “Namalanga wiiki ssatu nga ndowooza nti sirina ssuubi era nti nabula; era leero, bwe nnali nva ku nnimiro nga ngenda mu kibuga, ne mpita ku lutindo oluli ku kidiba ky'ekyuma ekikuba obuwunga, waliwo ekyalinga kigamba nti, ‘Obadde obula! Tolina ssuubi! Buuka mu kidiba weesuule mu mazzi ofe!’ Nalowooza nti okukola ekintu ng'ekyo kyandireetedde ensonga ya Kristo okuvvoolebwa, era kyennava nziyizibwa okwetta.”
GSAM 384Okununulibwa Kwajja Mangu
GSAM 384.1“Kale, Ow'oluganda Harvey, tobula!” bwe namugamba. “Nnina wano obujulizi obuva butereevu mu ggulu, nga bugamba nti tobula!” N'addamu nti, “Kale nnaabuwulira.” Awo namusomera obujulizi, nga mmaze okusooka okumutegeeza nti tewali kigambo na kimu ekyali kiteekeddwa mu mikono gyange. Bwe namaliriza okusoma, amaaso ge gaayaka essanyu n'agamba nti, “Kale mu nsonga yange mulimu essuubi. Mazima nzikiriza Mukama.”
GSAM 384.2Oluvannyuma lw'okusoma, twamala ekiseera nga tusaba, era n'agolokoka nga muntu omulala era musanyufu. Yatutegeeza nti ebyawandiikibwa ebyo byali binnyonnyola engeri ebirowoozo bye gye byakolamu mu wiiki ssatu eziyise, mu butuufu obusinga engeri yonna gye yandisobodde okubinnyonnyola. Bwe kityo okwagala kwa Katonda kwalagibwa mu kununula ow'oluganda ono okuva mu kuggwaamu essuubi okuyita mu ngeri eno.
GSAM 384Ekifo ky'Omulimu Kyeeyongera
GSAM 384.3Okutuusa mu mwaka 1868, ekifo ky'omulimu gw'Abadiventi ab'Olunaku olw'Omusanvu kyali kikwatiddwa mu Amerika, era mu kitundu kyayo ekiri waggulu w'ensalo ey'obukiikaddyo eya Missouri n'ebuvanjuba bw'Omugga Missouri. Ku lukuŋŋaana olw'okwekenneenya ebifo n'okugabanya emirimu, mu kiseera ky'Olukiiko Olukulu olw'Ekkanisa mu Nsi Yonna olwali mu Battle Creek, Mich., nga May 28, kyasalibwawo okusindika abakozi babiri n'eweema ey'ebigere nkaaga e California. Omusumba D. T. Bourdeau n'omuwandiisi baatuuka e San Francisco nga July 18 ow'omwaka ogwo.
GSAM 384Okutandika kw'Obuminsani mu California
GSAM 384.4Waliwo ekintu kye njagala okwogerako ku kutandika kw'obuminsani mu California, ekiraga bulungi obugaso obw'ekirabo ky'obunnabbi. Pawulo bwe yali ayogera ku birabo eby'Omwoyo, nga mw'otwalidde n'ekirabo ky'obunnabbi, yagamba nti birimu “olw'okutuukiriza abatukuvu, olw'omulimu gw'obuweereza, olw'okuzimba omubiri gwa Kristo.”3 Mazima, engeri esinga obusobozi okutuukiriza abatukuvu kwe kubalaga ensobi zaabwe, balyoke baziggyeewo, era banaazibweko ebibi byabwe mu musaayi ogw'omuwendo ogwa Mukama waffe Yesu Kristo. Olw'ekigendererwa kino, obuyambi obuyita mu kirabo ky'obunnabbi mu mulimu gw'obuweereza bweyolekese bulijjo nga bukwatagana n'ensonga y'amazima ag'ekiseera kino, nga bulaga abaweereza ba Mukama obulema mu ngeri gye bakolamu, n'engeri gye bandibadde ab'omugaso okusingawo mu kukyusa emyoyo singa bakozesa enkola endala.
GSAM 385Obujulizi ku Ngeri y'Okukolera mu California
GSAM 385.1Amangu ddala nga tumaze okutuuka mu California, twafuna ebbaluwa okuva eri Mukyala White, mwe yategeeza okwolesebwa kwe yali aweereddwa mu Battle Creek ku Lwokutaano akawungeezi nga June 12,—olunaku lwe twali tumaze e Lancaster, N. Y., nga tetunnagenda California. Yali tannaba kuba mu California, era yali tamanyi ku bubwe mpisa z'abantu. Mu mazima, mu kiseera ekyo yali tannaba kusala bugwanjuba bwa Mugga Missouri. Amagezi gonna ge yalina ku bintu ebyali eyo gaava ku ebyo Mukama bye yasanyukira okumubikkulira.
GSAM 385.2Mu biragiro ebyali mu bbaluwa ye, yannyonnyola engeri abantu ba California gye baali bagabiramu, n'engeri omulimu mu bo gye gwandikozeseddwamu singa gukolebwa mu ngeri ekakafu ey'okubalirira buli ssente entono. Mu kubuulira abantu ba California, baalina okubatuukirira mu mwoyo ogugabira nga ogwo gwe baakozesanga mu mirimu gyabwe, naye nga si mu ngeri ya kusaasaanya ssente.
GSAM 385Obuwanguzi Obwalagulwa Bwatuuka
GSAM 385.3Bwe nkuba eriiso emabega kati ku myaka amakumi asatu mu musanvu egiyise okuva omulimu lwe gwatandikira mu California, ne ndowooza ku mbeera eyaliwo olwo, ku mbeera y'abantu, n'engeri gye twandikozesemu omulimu gwaffe singa tetwafuna bujulizi, era bwe ndaba ebivudde mu kugoberera ebiragiro ebyatuweebwa, nsobola okugamba nti ensonga yaffe yakula mu myezi esatu okusinga bwe yandikudde mu mwaka gumu singa tetwayambibwa mu mulimu gw'obuweereza okuyita mu biragiro ebyatuweebwa mu kirabo ky'obunnabbi. Okutuusa mu kiseera kya ttoggo eky'omwaka 1871, olw'ebikolwa ebyakolebwa mu Sonoma County, amakkanisa ataano ag'abakuumi ba Ssabbiiti gaali gatandikiddwa.
GSAM 386Olukuŋŋaana Olusooka olw'Omu Weema e San Francisco
GSAM 386.1Mu June ow'omwaka gwe gumu, twasimba eweema yaffe omulundi ogwasooka e San Francisco. Omusumba Bourdeau bwe yali akomyewo e Buvanjuba, omukozi omulala okuva e Michigan yasindikibwa okumuddira mu bigere. Yatuuka nga June 17, era amangu ago ne yeegatta nange okukolera mu kibuga. Oluvannyuma lw'okumala wiiki ntono nga tukolera mu weema, tweyongera n'olukuŋŋaana lwaffe okutuusa nga Dec. 1, 1871, mu bizimbe bye twapangisa. Olw'omulimu guno, abantu abasoba mu amakumi ataano baakkiriza obubaka e San Francisco.
GSAM 386Ebigezo eby'Omunda mu California
GSAM 386.2Okutuusa ku lunaku luno, ebigezo byaffe mu California byasinga kuva ku kuziyizibwa okwava ebweru, naye kati ne wajja okugezesebwa kw'okukkiriza okw'abantu baffe okw'engeri endala era okutasuubirwa. Omukozi eyali akolera awamu naffe yanyiikira mu nkola y'ebikolwa gye nnali nkakasa nti yandireetedde ye n'ensonga okuvvoolebwa. Twalina abalabe abamu abakaawa mu kibuga, abaali balondoola buli kye twakolanga, era nga beetegefu okukozesa ekikolwa kyonna ekitali kya magezi okutulumya. Kyafuuka kyetaagisa nnyo okugondera okulabula kw'omutume okwogera nti “weewale buli kifaananyi ky'obubi.”
GSAM 386Obwetwaze Obw'akabi
GSAM 386.3Ssaagamba nti ow'oluganda yali akoze ekibi ekyennyini mu nkola ye ey'ebikolwa, naye nalowooza nti abalabe baffe bandikozesezza ekintu kye yayitanga ekitali kibi. Yakwata ekifo nti yalina eddembe “okukola nga bw'ayagala” mu nsonga eyo, naddala nga kyakkirizibwa nti tewali kibi mu kye yali akola. Bwe kityo ebintu ne bigenda mu maaso okutuusa nga Jan. 23, 1872, lwe nava e Sonoma County ne ngenda e San Francisco okulaba ekyandikoleddwa okuziyiza ebintu ebyo.
GSAM 387.1Mu kiseera kino abalabe baffe baali bakozesa enkola ye nga bwe nnali ntya, era ye n'akwatanga ekifo nti, “si nsonga yaabwe,” nti yandibalaze nti yalina ebirowoozo bye, era nti yanditambulidde mu nguudo nga bw'ayagala, era n'omuntu yenna gw'ayagala, nga tateekeddwa kuwulira bigambo byabwe. Nagezaako, mu kukola naye kyama, okumulaga nti enkola ng'eyo teyandibadde nnungi, era nti omwoyo ogw'obwetwaze ng'ogwo gwandikomye mu bubi. Yalina mikwano gye egyamusaasira nnyo, era abamu ku bo ne batandika okukwata ekifo ekyandimuleetedde okunenyezebwa okw'amaanyi. Ekisinga obungi mu kkanisa baalaba obubi bw'obukyamu bwe, era baali beetegefu okuwagira kaweefube gwe nnali nkola okununula ensonga mu kuswazibwa.
GSAM 387Olukuŋŋaana olw'Okunoonyereza Lwategekebwa
GSAM 387.2Bwe kityo ensonga bwe zaali ku Ssabbiiti, nga January 27, ne kikkirizibwa nti waaliwo obwetaavu bw'okunoonyereza ku nsonga eyo, n'Ekkanisa okukola ekikolwa ekisalawo, okubawonya ekika kya nsonyi omwoyo ogw'okwejeemesa guno gwe gwandireese. Olukuŋŋaana lwategekebwa okutandika ku Sande, nga January 28, ku ssaawa ssatu ez'enkya, okwogera ku mbeera n'obuvunaanyizibwa bwaffe ng'Ekkanisa ku nsonga eyo. Nga bwe kyali kirabika, okwawukana kw'Ekkanisa eyo kwali tekuyinza kulemwa. Ekiro ekyo nakimala ekiseera kinene nga nsaba Katonda, akole ku lwaffe.
GSAM 387Okwatula Ensobi Okuwandiikiddwa
GSAM 387.3Ku makya nga 28, bwe nnali ng'enda ku lukuŋŋaana, nasisinkana omukozi munange ku mabbali g'ekkubo, okumpi n'ennyumba gye nnali nsula, ng'akaaba. N'agamba nti, “Ow'oluganda Loughborough, leero sigenze ku lukuŋŋaana.”
GSAM 387.4“Togenda ku lukuŋŋaana?” bwe namugamba; “olukuŋŋaana lukwata ku nsonga yo.”
GSAM 388.1“Nkitegeera,” n'agamba, “naye nkyamye mu buli kimu. Oli mutuufu mu kifo ky'okwatamu ku nze. Eno bbaluwa ey'okwatula ensobi gye mpandiise eri Ekkanisa; gitwale ogibasomere. Kijja kubeera kirungi gy'oli, era kirungi eri abo abandyagadde okunsaasira, bwe mba nga siriiwo.”
GSAM 388.2“Kiki ekireese enkyukakyuka eno ennene mu ggwe okuva jjo?” bwe namubuuza.
GSAM 388Okwolesebwa Okw'ekitalo Kwafunibwa
GSAM 388.3Yaddamu nti, “Nnagenda ku poosti ekiro ekiyise, oluvannyuma lwa Ssabbiiti, ne nfuna ebbaluwa okuva eri Mwannyinaffe White, okuva e Battle Creek, Mich. Obujulizi bw'awandiise ku lwange.” Bwe yali ampa ebbaluwa, n'agamba nti, “Soma ebyo, ojja kulaba Mukama bw'alaba ensonga yange.”
GSAM 388.4Yansaba ntegeeze Ekkanisa nti yali afunye obujulizi okuva eri Mwannyinaffe White, nga bumunenya olw'empisa ze, era nti yali abukkiriza kubanga bwali mazima.
GSAM 388Engeri Okwolesebwa Gye Kwali Kukakasa
GSAM 388.5Kino kyali kitundu ku kwolesebwa okwawereddwa Mukyala White e Bordoville, Vt., nga Dec. 10, 1871. Yatandika okuwandiika ekitundu ekikwata ku nsonga y'ow'oluganda ono nga Dec. 27, 1871, naye olw'ensonga emu okuwandiika ebbaluwa yonna kw'alwawo okutuusa nga Jan. 18, 1872, lwe yamalirizibwa n'esindikibwa okuva e Battle Creek. Awo kyatwala ennaku nga mwenda okutuusa ebbaluwa lwe yatuuka ku lukalu okuva e Michigan okutuuka e California.
GSAM 388.6Mu kwolesebwa, ebintu bingi abikkulirwa mu ngeri ey'obunnabbi. Bwe kyali ne mu mbeera eno. Mu kiseera eky'okwolesebwa, waaliwo kimu ku kifaananyi kyokka eky'ekyo ekyatuuka okwolesebwa mu mazima obujulizi bwe bwatuuka e San Francisco. Bwe tugeraageranya ennaku, kijja kulabika nti ensonga e San Francisco yatuuka ku ntikko ng'obujulizi obuwandiike bumaze okuva mu kifo ekyasooka. Ab'oluganda baffe e San Francisco baalaba amangu nti tewali muntu yandisobodde kuwandiika e Battle Creek n'ategeeza Mukyala White ebigambo mu budde obwamusobozesa okuwandiika ebbaluwa eno, kubanga embeera ezo zaali tezinnabaawo mu kiseera ekyo.
GSAM 389.1Ekintu kino kyali kya maanyi nnyo eri ab'oluganda abali eyo, ne kibakakasa nti okwolesebwa okwo kwalina amaanyi aga Katonda. Saawandiikira Omusumba White wadde mukyala we lunyiriri lumu ku mbeera eyali e San Francisco, era omukozi munange n'alangirira nti yali tawandiise kigambo kyonna; ab'oluganda ne bagamba nti, “Singa yali awandiise, teyandiyogedde bintu ebyayolesebwa ebimukwatako.”
GSAM 389Engeri Okwolesebwa Gye Kwawandiikibwamu
GSAM 389.2Oluvannyuma bwe twategeera, okuva ku nkomerero endala ey'olunyiriri, ku kuwandiikibwa n'okusindikibwa kw'obujulizi, kyeyongera okweyoleka nti Mukama eyawa okwolesebwa yali alina obuyinza ku kiseera ekyali kigenda okuwandiikibwamu n'okusindikibwamu, kibutuuke eyo mu kiseera ekituufu.
GSAM 389.3Ku makya ennyo nga Jan. 18, 1872, Mukyala White yazuukusibwa ng'obujulizi obwo obwogerwako bwali bumukubye nnyo mu birowoozo. Ekintu ekyo kyali kimutangaaza nga bwe kyandibadde kyogerwa mu ddoboozi nti, “Wandiika mangu obujulizi obwo obw'e California, obuteeke mu nsawo y'amabaluwa esooka egenda; bwetaagibwa.” Bwe kyaddirwamu omulundi ogw'okubiri, n'agolokoka, ne yeetereeza mangu, n'amaliriza okuwandiika. Ng'ekyenkya tekinnaba kubeera, yagiwa mutabani we Willie, n'amugamba nti, “Twala ebbaluwa eno ku poosti, naye togiteeka mu kabokisi. Giwe omukulu wa poosti, omukakase agiteeke mu nsawo y'amabaluwa egenda ku makya ga leero.” Oluvannyuma yagamba nti yalowooza nti ebiragiro bye byali bya njawulo katono, naye teyabuuza, n'akola nga bwe yamulagira, era “n'alaba ebbaluwa ng'eteekebwa mu nsawo y'amabaluwa.”
GSAM 389Obukakafu bw'Okulungamizibwa Katonda
GSAM 389.4Bw'omanya embeera yaffe e San Francisco mu kiseera ekyo, ojja kulaba mangu obukulu bw'okuteeka ebbaluwa mu nsawo eyo yennyini. Mu nnaku ezo amabaluwa ag'oku lukalu gaajjangawo omulundi gumu gwokka buli lunaku. Singa ebbaluwa yatuuka ekiro kya Sande, nga 28, mu kifo ky'ekiro kya Lwomukaaga, nga 27, awatali kubuusabuusa waali wandibaddewo okwawukana okw'ennaku mu kkanisa. Singa yatuuka wiiki eziwerako ng'ekiseera ekyo tekinnatuuka, ne bwe kyandibadde amangu ddala ng'okwolesebwa kuweereddwa, Ekkanisa teyandiyanguyiddwa kulaba maanyi gaayo.
GSAM 390.1Wano waaliwo obujulizi obwalaga obubonero obutegeerekeka obw'omukono gwa Mukama, kubanga bwatuuka mu kiseera ekituufu eky'okutereeza obubi obwaliwo, era ow'oluganda yabukkiriza n'obwetoowaze n'abukolerako, ne bukola amaanyi mangi okuleeta obumu n'obutebenkevu mu kkanisa eyo ento.
GSAM 390Engeri y'Okukubamu Okwolesebwa mu Biwandiiko
GSAM 390.2Ekyokulabirako kino era kiraga ebigambo bye yennyini ku ngeri gy'awandiikamu ebyo by'alabye. Ku nsonga eno agamba nti: “Nzuukusiddwa mu tulo twange nga mpulira bulungi ebintu ebyali byasooka okuteekebwa mu birowoozo byange; era nawandiika, mu ttumbi, amabaluwa agaagenda okuyita ku lukalu, era bwe gaatuuka mu kiseera eky'obuzibu, ne gawonya ensonga obubenje obw'amaanyi.”4