Essuula 3 — Okujja kw'Ezzadde Eryasuubizibwa
GSAM 57.1“Naye ekiseera bwe kyatuuka okutuukirira, Katonda n'atuma Omwana we, ... eyazaalibwa ng'ali wansi w'amateeka, anunule abaali wansi w'amateeka, tulyoke tufune okuyingizibwa mu bw'abaana.”1
GSAM 57.2“Kale oyo ayinza okubanyweza ng'enjiri yange n'okubuulira Yesu Kristo bwe biri, ng'okubikkulwa kw'ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva ensi lwe yatandika, naye kaakano ekirabikidde, era ekitegeezeddwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, ng'ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, balyoke bagondere okukkiriza: Katonda yekka ow'amagezi aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe gyonna.”2
GSAM 57.3“Yantegeeza ekyama mu kubikkulirwa; nga bwe nnawandiika edda mu bigambo bitono, ... ekitaategeezebwa baana ba bantu mu mirembe emirala, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo.... Nze, omutono okusinga n'oyo asinga obutono mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa kino, okubuulira ab'amawanga obugagga bwa Kristo obutayinza kukeberwa ne buggwaayo; n'okulaga abantu bonna okugabana kw'ekyama kye kuli, ekyakwekebwa mu Katonda okuva ensi lwe yatandika, eyatonda ebintu byonna ku bwa Yesu Kristo.”3
GSAM 57.4Kyayogerwa nti mu Ndagaano Enkadde enjiri ekwekeddwa; mu Ndagaano Empya ebikkuliddwa. Nga omulala bwe yayogera nti, “Bwe beeyongera okuva ku Katonda, Abayudaaya baava nnyo ku kutegeera ebyayigirizibwanga mu kuweereza okw'emikolo. Kristo yennyini ye yateekawo okuweereza okwo. Buli kitundu kyakwo kyali kimukiikirira; era kwali kujjudde obulamu n'obulungi obw'omwoyo. Naye Abayudaaya baafiirwa obulamu obw'omwoyo mu mikolo gyabwe, ne banywerera ku bikolwa eby'okungulu ebitalimu bulamu. Beesiga ssaddaaka n'ebiragiro byennyini, mu kifo ky'okwesiga oyo gwe byasongangako.
GSAM 58Okusuubira Obufuzi obw'Ensi
GSAM 58.1“Wadde ng'Abayudaaya baayagalanga okujja kwa Masiya, tebaategeera mulimu gwe. Tebaanoonyanga kununulibwa mu kibi, wabula okusumululwa mu bufuzi bw'Abaruumi. Baalindirira Masiya ajje ng'omuwanguzi, amenye amaanyi g'oyo eyabanyigirizanga, era agulumize Isirayiri efuge ensi yonna. Bwe batyo baategekebwa okugaana Omulokozi.
GSAM 58.2“Abantu, abaali mu kizikiza n'okunyigirizibwa, n'abafuzi abaali balulunkanira obuyinza, baayaanira okujja kw'oyo eyandiwangudde abalabe baabwe n'okuddiza Isirayiri obwakabaka. Baali basomye obunnabbi, naye nga tebalina kutegeera kwa mwoyo. Bwe batyo tebaafa ku byawandiikibwa ebisonga ku kwetoowaza kwa Kristo mu kujja kwe okusooka, era baakozesa bubi ebyo ebyogera ku kitiibwa ky'okujja kwe omulundi ogw'okubiri. Amalala gaaziba amaaso gaabwe; baavvuunula obunnabbi ng'okwegomba kwabwe okw'okwerowoozaako bokka bwe kwali.
GSAM 58.3“Okumala emyaka egisukka mu lukumi, Abayudaaya baali balindiridde okujja kw'Omulokozi. Ku kintu kino kwe baali batadde essuubi lyabwe eryasinga obulungi. Mu nnyimba ne mu bunnabbi, mu mikolo gya yeekaalu ne mu kusaba okw'omu maka, baali batadde erinnya lye mu kifo eky'ekitiibwa. Naye bwe yajja tebamumanya. Oyo eyali Omwagalwa w'eggulu yali gye bali ‘ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu;’ teyali ‘na kifaananyi newakubadde okulabika obulungi;’ era tebaamulabamu bulungi obwabandireetedde okumwegomba. ‘Yajja mu bibye, n'abe tebaamusembeza.’”4
GSAM 58Ow'Olulyo lwa Dawudi
GSAM 58.4Ekiseera Danyeri kye yalagula bwe kyali kisembera, ‘Masiya Omulangira’—Oyo eyafukibwako amafuta—mwe yali ow'okulabikira, Abayudaaya baali bayinza okulowooza, era awatali kubuusabuusa bwe baakola, bwe bati: Masiya mu mubiri alina kuba wa mu nnyumba ne mu lulyo lwa Dawudi; n'olwekyo alina okuzaalibwa mu lulyo olwo. Era ng'ebiragiro by'amateeka n'obulombolombo bw'Abayudaaya bwe biri, alina okufukibwako amafuta atandike okuweereza mu lujjudde ng'awezezza emyaka amakumi asatu. Kale bw'aba ow'okulabika ng'Oyo eyafukibwako amafuta ku myaka egyo, alina okuzaalibwa emyaka amakumi asatu ng'ekiseera kya wiiki enkaaga mu mwenda ez'emyaka tekinnaggwaako, ezirina okutuuka ku kujja kwa Masiya.
GSAM 59Obunnabbi bwa Simyoni ne Ana
GSAM 59.1Mu kiseera ekyo Isirayiri yenna yali mu kusuubira. Abo abaanyiikiranga okusoma Ebyawandiikibwa n'obwesigwa baali balindirira okuzaalibwa kw'oyo eyali agenda okuba Omufuzi waabwe era Omukulembeze waabwe. Simyoni, eyali akaddiye era ng'atya Katonda, yategeezebwa “Omwoyo Omutukuvu nti taliraba kufa nga tannalaba Kristo wa Mukama.”5
GSAM 59.2Omulokozi omuwere bwe yaleetebwa mu yeekaalu, Simyoni yamanya nti omwana ono ye yali ayogerwako—Kristo. “Awo n'amuwanika mu mikono gye, ne yeebaza Katonda, n'agamba nti, Mukama wange, kaakano osiibula omuddu wo mirembe, ng'ekigambo kyo bwe kiri; kubanga amaaso gange galabye obulokozi bwo, bwe wateekateeka mu maaso g'abantu bonna: ekitangaala eky'okwolesa ab'amawanga, era ekitiibwa ky'abantu bo Isirayiri....
GSAM 59.3“Simyoni n'abasabira omukisa [Yusufu ne Malyamu], n'agamba Malyamu nnyina nti, Laba, omwana ono ateekeddwawo okugwisa n'okuyimusa bangi mu Isirayiri; era okuba akabonero akanaayogerwako obubi (era ekitala kirifumita n'emmeeme yo yennyini), ebirowoozo by'emitima emingi biryoke bibikkulwe.
GSAM 59.4“Waaliwo ne Ana, nnabbi omukazi, muwala wa Fanweri, ow'ekika kya Aseri.... N'ajja mu kiseera ekyo kyennyini ne yeebaza Mukama naye, n'amwogerako eri bonna abaali balindirira okununulibwa mu Yerusaalemi.”6
GSAM 59Bamalayika Bakyalira Abasumba
GSAM 59.5Ebyo nga tebinnabaawo, amawulire ag'essanyu ag'okuzaalibwa kw'Omulokozi gaali galangiriddwa bamalayika eri abasumba mu nnimiro ez'e Besirekemu. Abasumba bwe baali bawuliriza, bamalayika baayimba ebigambo bino eby'eddoboozi eddungi:—
GSAM 60Abagezigezi Bakyalira Besirekemu
GSAM 60.2Awo ne bajja abagezigezi okuva ebuvanjuba, abaali balabye ‘emmunyeenye ng'evaayo,’ nga Balamu bwe yali alagudde. Bwe baagoberera obulagirizi bwayo baatuuka e Yerusaalemi, gye kyabeetaagisa okubuuza ku Kabaka eyali yaakazaalibwa. Bwe baategeezebwa nti Besirekemu kye kyali ekifo Oyo Eyeegombebwa we yali ow'okuzaalibwa, ne bongera ku lugendo lwabwe. Emmunyeenye eyaddamu okulabika n'ebaluŋŋamya okutuukayo, ne batuusibwa mu kifo eky'obwetoowaze Omulokozi mwe yali agalamidde. Wano baasinza Omwana omutukuvu, ne bamuwa ebirabo ebya zaabu, obubaane n'omugavu, oluvannyuma ne batandika olugendo lwabwe oluwanvu okuddayo eka.
GSAM 60Omulokozi ng'Alina Emyaka Kkumi n'Ebiri
GSAM 60.3Okuva mu buto bwe okutuuka ku myaka ekkumi n'ebiri, bitono ebyawandiikibwa ku Kristo Omulokozi, okuggyako okukula kwe mu magezi ne mu mubiri, n'okugondera bazadde be mu bwesigwa. Naye ku myaka ekkumi n'ebiri, bwe yagenda ne Yusufu ne Malyamu e Yerusaalemi ku mbaga ey'omwaka, yeewuunyisa bakabona olw'okumanya kwe yalaga mu bibuuzo bye, ne mu by'okuddamu bye yawa ku bizibu byabwe ebyali bibasobedde. Okuva ku kiseera kino okutuuka lwe yatandika omulimu gwe mu lujjudde, yawa omulimu ogw'obwetoowaze ogw'okubajja ekitiibwa bwe yakolanga ne Yusufu, bba Malyamu.
GSAM 60Omulimu gwa Yokaana Omubatiza
GSAM 60.4Okumala emyezi mukaaga ng'okuweereza kwe mu lujjudde tekunnatandika, omulimu gwa Kristo gwalangirirwa Yokaana Omubatiza. Abantu bajjanga mu bibiina ebinene okuwulira Yokaana, n'okubatizibwa ye. Bwe ‘baali basuubira [nga basuubira Masiya okujja] era abantu bonna nga balowooza [“nga beetegereza oba nga bakubaganya ebirowoozo,” mu bigambo eby'oku mabbali] mu mitima gyabwe ku Yokaana, obanga ye Kristo oba si ye; Yokaana n'abaddamu bonna nti, Nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja ansinga amaanyi, gwe ssisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro. Olugali lwe luli mu mukono gwe, era alirongoosereza ddala egguuliro lye, n'akuŋŋaanya eŋŋaano mu ggwanika lye; naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.’7
GSAM 61Yesu Abatizibwa
GSAM 61.1Yokaana bwe yali akola omukolo gw'okubatiza, yalaba Yesu ng'ajja gy'ali okubatizibwa, n'agamba nti, “Laba Omwana gw'Endiga owa Katonda, aggyawo ekibi ky'ensi.... Yokaana n'awa obujulirwa, ng'agamba nti, Nnalaba Omwoyo ng'akka okuva mu ggulu ng'ejjiba, n'amubeerako. Nange saamumanya; naye eyantuma okubatiza n'amazzi ye yaŋŋamba nti, Gw'oliraba Omwoyo ng'amukkako n'amubeerako, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu. Nange nnalaba, ne njulira nti ono ye Mwana wa Katonda.”8
GSAM 61Eddoboozi okuva mu Ggulu
GSAM 61.2Obwa Masiya bwa Kristo tebwakakasibwa kukka kwokka okw'Omwoyo Omutukuvu okwalabibwa mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, wabula era n'eddoboozi okuva mu ggulu. Mu Njiri ya Matayo tusoma nti, “Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi: kale, eggulu ne limubikkukira, n'alaba Omwoyo gwa Katonda ng'akka ng'ejjiba, n'amutuulako: era, laba, eddoboozi okuva mu ggulu nga ligamba nti, Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo.”9
GSAM 61.3Wadde nga ‘Yokaana teyakola kyamagero,’ abantu bwe baalaba amaanyi amangi agaali awamu n'okuweereza kwa Kristo, baawalirizibwa okugamba nti, “Byonna Yokaana bye yayogera ku muntu ono byali bya mazima.”10
GSAM 61Kristo Afukibwako Amafuta ng'Amateeka Bwe Galagira
GSAM 61.4Mu ebyo Lukka bye yawandiika ku kubatizibwa n'okufukibwako amafuta okwo okw'Omwoyo Omutukuvu mu kifaananyi ky'ejjiba, tusoma nti, “Yesu yennyini yali yaakatandika okuba ng'aweza emyaka amakumi asatu.”11
GSAM 62.1Oluvannyuma lw'okusiiba kwa Mukama waffe okw'ennaku amakumi ana, n'okukemebwa okw'amaanyi okwa Setaani mu ddungu, ebyaddirira amangu ddala okubatizibwa kwe, “n'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; era ng'empisa ye bwe yali, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro ku lunaku lwa Ssabbiiti, n'ayimirira okusoma.... Omwoyo gwa Mukama ali ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu enjiri.... N'atandika okubagamba nti, Leero ekyawandiikibwa kino kituukiridde mu matu gammwe.”12
GSAM 62Ekiseera Kituukiridde
GSAM 62.2Makko, ng'awandiika ku kintu kye kimu, agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n'obwakabaka bwa Katonda bunaatera okutuuka: mwenenye, mukkirize enjiri.”13 Ekiseera ekyalagulwa Oyo Eyafukibwako Amafuta mwe yali ow'okulabikira kyali kituuse. Okufukibwako amafuta okw'Omwoyo Omutukuvu kwali kubaddewo ku kubatizibwa kwe, era kaakano yali atandika okuweereza kwe, mu kiseera kyennyini era mu ngeri bannabbi abatukuvu ab'edda gye baalagula.
GSAM 62Obukakafu Obulabika Obw'Obwa Masiya bwa Kristo
GSAM 62.3Okuweereza kwa Kristo kwagenderanga wamu n'okukola ebyamagero obutayosa; ebyamagero ebyo, ne bwe bataategeeranga ddala ngero ze n'ebigambo bye, byali eri abantu obukakafu obulabika nti ye yali Immanweri, oba nti “Katonda yali naye.”14 Mu byamagero bino Kristo yali awa ensi obukakafu bw'amaanyi ga Katonda agaali mu ye, era n'okulaga mu bikolwa empisa za Katonda n'ekisa kye eky'okwagala. Firipo, oluvannyuma lw'emyaka esatu egy'okubeeranga ne Kristo obutayosa, ng'alaba ebyamagero bye eby'amaanyi, bwe yagamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala,” Yesu n'amugamba nti, “Mbaddenga nammwe ekiseera ekiwanvu bwe kiti, naye tonnammanya, Firipo? Alabye nze ng'alabye Kitange; kale ggwe oyinza otya okugamba nti, Tulage Kitaffe? ... Munzikirize nti nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze; oba munzikirize olw'ebikolwa byennyini.”15
GSAM 63Yokaana Asoberwa
GSAM 63.1Wadde nga ku kubatizibwa kwa Kristo, Yokaana yali alabye okukka okw'Omwoyo Omutukuvu, era ng'awulidde eddoboozi okuva mu ggulu nga limulangirira okuba Omwana wa Katonda, era ye yennyini ng'alangiridde nti ye yali “Omwana gw'Endiga owa Katonda aggyawo ekibi ky'ensi,” ebyali bigenda mu maaso byali bya njawulo nnyo ku bye yali asuubira, n'asoberwa era n'atabulwa mu kkomera lye ery'ennaku.
GSAM 63.2“Okufaanana abayigirizwa b'Omulokozi, Yokaana Omubatiza teyategeera ngeri y'obwakabaka bwa Kristo. Yasuubira Yesu okutuula ku ntebe ya Dawudi; naye ekiseera bwe kyayita, ng'Omulokozi teyeewadde buyinza bwa kabaka, Yokaana n'asoberwa n'ateganyizibwa.”16 “N'ayita babiri ku bayigirizwa be, [n'abatuma] eri Yesu, ng'agamba nti, Ggwe wuuyo ajja? oba tulindirira mulala?” “Mu kiseera ekyo kyennyini [Yesu] n'awonya bangi endwadde zaabwe n'ebibonoobono n'emyoyo emibi; n'abazibe b'amaaso bangi n'abawa okulaba. Awo Yesu n'abaddamu n'abagamba nti, Mugende mubuulire Yokaana bye mulabye ne bye muwulidde.”17
GSAM 63.3Kyabanga kizibu eri Abayudaaya, wadde eri abayigirizwa, okulaba obulungi amazima mangi Omulokozi ge yayogera, kubanga baali banyweredde nnyo ku kukkiriza nti Masiya bw'alijja alimenya ekikoligo ky'Abaruumi ekyabanyigiriza ennyo, era amangu ago azzeewo obwakabaka bwa Dawudi, afuge nga kabaka ow'ensi.
GSAM 63.4Yesu yatandika okubuulira kwe ng'agamba nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.”18 Abatume be ekkumi n'ababiri bwe baatumibwa, baatwala obubaka bwe bumu nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.”19 N'oluvannyuma mu kuweereza kwe, ensanvu bwe baatumibwa, baagambibwa ebigambo bino nti, “Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.”20
GSAM 64Abantu Beewuunya Omulimu gwa Kristo
GSAM 64.1Ebigambo bya Kristo n'okuyigiriza kwe eby'ekitalo byaleetera abantu okugamba nti, “Tewabangawo muntu ayogera ng'omuntu ono.”21 Era bwe yawonya omusajja eyali omuzibe w'amaaso era kasiru, “abantu bonna ne beewuunya, ne bagamba nti, Ono si ye mwana wa Dawudi?”22 Oba, mu bigambo ebirala, Ono si lye zzadde lya Dawudi, Omulokozi eyasuubizibwa? “Bwe yajja mu nsi y'ewaabwe, n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okwewuunya ne beewuunya, ne bagamba nti, Omuntu ono amagezi gano n'ebyamagero bino eby'amaanyi yabiggya wa? Ono si ye mwana w'omubazzi? nnyina tayitibwa Malyamu? ne baganda be, Yakobo, ne Yose, ne Simooni, ne Yuda?”23
GSAM 64.2Nga mu mwaka ogw'okusatu ogw'okuweereza kwa Kristo, bwe yali mu yeekaalu ng'ali ku mbaga ey'okugiwaayo eri Katonda, Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti, “Olituusa wa okutubuusabuusa? Obanga ggwe Kristo, tubuulire lwatu.”24 Mu mwaka ogwali guyise, bwe yakola ekyamagero eky'amaanyi eky'okuliisa enkumi ettaano n'“emigaati etaano egya sayiri n'obwennyanja bubiri obutono,” “n'ategeera nti baali bagenda kujja okumukwata n'amaanyi bamufuule kabaka, [n'olwekyo] n'addayo nate ku lusozi.”25
GSAM 64Kristo Ayigiriza Abayigirizwa ku Kufa Kwe
GSAM 64.3Mu kuyigiriza abayigirizwa be, Kristo yakitwala ng'ekikulu okubaggyamu ekirowoozo eky'obufuzi obw'ensi obwali bugenda okutandika amangu ago, n'okubalaga nti yali ateekwa okufa n'okuzuukira, okugenda n'okukomawo. Kale n'ababuuza nti, “Kale bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gy'eyali edda?”26 Oluvannyuma lw'okubakuutira “baleme okubuulira muntu yenna nti ye Yesu Kristo,” tusoma nti: “Okuva mu kiseera ekyo Yesu n'atandika okulaga abayigirizwa be nga kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, n'okubonaabona bingi eri abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuzuukizibwa ku lunaku olw'okusatu. Peetero n'amutwala ebbali, n'atandika okumunenya, ng'agamba nti, Kibeere wala naawe, Mukama wange; ekyo tekirikutuukako.”27
GSAM 65.1Mu kiseera kye kimu yabagamba nti waaliwo abamu abaali bayimiridde awo abataalifa okutuusa lwe baaliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.28 Nga wayise ennaku munaana, obunnabbi buno ne butuukirira; era omutume Peetero ayogera ku ‘kwolesebwa’ okwo okwa Kristo ng'ajja mu bwakabaka bwe ng'obukakafu bw'okujja kwa Kristo omulundi ogw'okubiri okwennyini okwali kukyali mu maaso.29
GSAM 65.2Lumu Kristo n'abayigirizwa be bwe baali mu Ggaliraaya, Yesu yabagamba nti, “Omwana w'omuntu aliweebwayo mu mikono gy'abantu; era balimutta, ne ku lunaku olw'okusatu alizuukizibwa. Ne banakuwala nnyo.”30 Era naye tebaategeera makulu ge. Kubanga ne bwe yali agezaako okuteeka mu birowoozo byabwe amazima amakulu ennyo ag'okufa kwe n'okuzuukira kwe, baali bakaayana bokka na bokka ku ani aliba omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.31
GSAM 65.3Olulala Peetero yagamba Yesu nti, “Twaleka byonna ne tukugoberera; kale tulifuna ki? Yesu n'abagamba nti, Ddala mbagamba nti, Mmwe abangoberedde, mu kuzaalibwa obuggya, Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, nga musalira ebika bya Isirayiri ekkumi n'ebibiri omusango.”32 Era naye ekirowoozo ky'obwakabaka obwali bunaatera okuteekebwawo kye kyali kisinga mu mitima gyabwe, era, ng'abantu bwe batera okukola, ne batandika okunoonya ekifo ekisinga obukulu mu bwakabaka.
GSAM 65.4Awo nnyina Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, eyali ayaayaanira ekitiibwa, n'ajja ng'asaba Kristo abaana be baweebwe ebifo ebigulumivu—omu ku mukono ogwa ddyo n'omulala ku mukono ogwa kkono ogw'entebe ye; oba, mpozzi, omu abeere Katikkiro wa gavumenti, n'omulala Omuwandiisi w'Eggwanga. Naye Kristo n'agamba lwatu nti, “Temumanyi kye musaba.”33
GSAM 66Okuyingira mu Yerusaalemi n'Obuwanguzi
GSAM 66.1Ekiseera ekyo nga tekinnayitawo nnyo, waabaawo ekintu ekikulu ekyewuunyisa ennyo. Kwali kuzuukiza Lazaalo okuva mu ntaana, eyali yaakamala ennaku nnya ng'afudde. Ekyamagero eky'amaanyi bwe kityo kyasitula abantu ne kibeewuunyisa nnyo, Abafalisaayo ne beeraliikirira; ne bayita olukiiko amangu ago nga bali ne bakabona. Mu kuteesa kwabwe baabuuza nti, “Tukola ki? kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi. Bwe tumuleka bw'ati, abantu bonna balimukkiriza; n'Abaruumi balijja ne batuggyako ekifo kyaffe n'eggwanga lyaffe.”34 Amaanyi ga Setaani okuva wansi bwe gaali gakwata abo abaali banoonya okuzikiriza Kristo, amaanyi okuva waggulu gaali gakubiriza ebibiina by'abantu okumugulumiza, n'okutuukiriza ebyali bimulaguddwako.
GSAM 66.2Ku kiseera ekyogeddwako waggulu, abantu baavaayo mu bungi, okulaba Yesu era n'okulaba Lazaalo gwe yali azuukizizza mu bafu. Kaakano baalaba nga kikakafu nti Yesu ye yali kabaka waabwe gwe baali balindiridde okumala ebbanga eddene. Bwe baamusanga ng'ajja e Yerusaalemi, ng'atudde ku mwana gw'endogoyi, ebigambo by'Ekyawandiikibwa ne bijja n'amaanyi mu birowoozo byabwe nti, ‘Totya, muwala wa Sayuuni: laba, kabaka wo ajja, ng'atudde ku mwana gw'endogoyi.’35 Okuleekaana okw'amaanyi okw'obuwanguzi ne kuva mu kibiina ekyo ekinene ennyo; ne kuteganya nnyo Abafalisaayo abaali abakakanyavu b'emitima era abaasaliriranga ebyabwe. Baagambagana bokka na bokka nti, “Mulaba nga temugasa n'akatono? Laba, ensi emugoberedde.”36 Bwe baasaba Kristo akomye okuleekaana, n'abaddamu nti, “Mbagamba nti, bano bwe bandisirisirye, amayinja gandikoowodde amangu ago.”37 Mukama yali ayogedde ku kiseera kino nti, ‘Muleekaane,’ era singa abantu tebatuukirizza kigambo kye, yanditadde eddoboozi mu mayinja g'oku luguudo, ne galeekaana; kubanga ekigambo kye kiteekwa okutuukirira.
GSAM 66Kristo Anaagenda n'Akomawo Nate
GSAM 66.3Omulokozi waffe teyagezaako kwokka kulagirira birowoozo by'abayigirizwa ku nsonga nti yali agenda kufa n'okuzuukira, naye era yayagala okubayigiriza nti obwakabaka tebwali bwa kujja okutuusa ng'amaze okugenda n'okuddamu okujja. Ng'ayogera ku kukomererwa kwe yagamba nti, “Nange bwe ndisitulibwa okuva ku nsi, ndireeta abantu bonna gye ndi. Yayogera bw'atyo ng'alaga okufa kwe yali agenda okufa. Abantu ne bamuddamu nti, Twawulira mu mateeka nti Kristo abeerawo emirembe gyonna; kale oyogera otya nti, Omwana w'omuntu ateekwa okusitulibwa? Omwana w'omuntu ono y'ani?”38
GSAM 67.1Okutegeereza ddala abayigirizwa nti yali ateekwa okugenda n'okuddamu okujja, obwakabaka bwe bulyoke bunywezebwe ku nsi, yagamba nti, “Abaana abato, nkyali nammwe ekiseera kitono. Mulinnoonya; era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti, Gye ŋŋenda temuyinza kujjayo, bwe mbagamba nammwe kaakano.... Simooni Peetero n'amugamba nti, Mukama wange, ogenda wa? Yesu n'amuddamu nti, Gye ŋŋenda toyinza kungoberera kaakano; naye olingoberera oluvannyuma.”39 Awo n'agumya emitima gyabwe egyali gyeraliikirira era egyali eminakuwavu n'ebigambo bino: “Emitima gyammwe tegyeeraliikiriranga: mukkiriza Katonda, nange munzikirize. Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu; singa tekiri bwe kityo, nandibagambye. Ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Era bwe ndigenda ne mbateekerateekera ekifo, ndikomawo ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe gye muba mubeera.”40
GSAM 67Olugero lw'Omusajja ow'Ekitiibwa
GSAM 67.2Omulokozi yaddamu okugezaako okutereeza endowooza enkyamu nti obwakabaka bwali bugenda kulabika amangu ago, ng'akozesa olugero luno bwe yali ayambuka e Yerusaalemi n'abayigirizwa: “Omusajja ow'ekitiibwa yagenda mu nsi ey'ewala okuweebwa obwakabaka, alyoke akomewo. N'ayita abaddu be kkumi, n'abakwasa pawundi kkumi, n'abagamba nti, Musuubulenga okutuusa lwe ndikomawo.... Awo olwatuuka bwe yakomawo ng'amaze okuweebwa obwakabaka, n'alagira abaddu abo be yawa ssente bayitibwe bajje gy'ali, alyoke amanye buli omu bye yagobamu mu kusuubula.”41 Mu lugero luno Mukama yeefaananya n'omusajja ow'ekitiibwa. Yali agenda kugenda mu nsi ey'ewala—eri Kitaawe—eyo aweerwe obwakabaka, alyoke akomewo okufuga.
GSAM 68.1Ng'addamu ekibuuzo ky'abayigirizwa nti, “Akabonero k'okujja kwo n'ak'enkomerero y'ensi kaliba ki?”42 Omulokozi yabategeeza ebyali bigenda okubaawo, okutuukira ddala mu kibonyoobonyo ekinene ekyali kigenda okutuuka ku kkanisa, n'obubonero obw'enkukunala obwali bugenda okulabika. Bwe bandibulabye, bandimanye nti okujja kwe kuli kumpi, ku nzigi ddala, era nti omulembe ogubulaba teguliggwaawo nga tannajja.43
GSAM 68Abayigirizwa Bonna Bamwabulira
GSAM 68.2Naye wadde nga Kristo yali ayigirizza abatume ebyo byonna ku kufa kwe n'okutoowazibwa kwe, baalemwa ddala okutegeera amazima ge yabayigiriza ku kuwozesebwa kwe n'okukomererwa kwe. Baategeera amazima ago katono nnyo, ne kiba nti okugezesebwa bwe kwatuuka, essuubi lyabwe ne lifa, era bonna “ne bamwabulira ne badduka.”44 Ne Peetero, Peetero oyo eyabanga omunyiikivu bulijjo, eyagamba n'obuvumu nti wadde abantu bonna bamwabulire ye talimwabulira, oluvannyuma lw'essaawa ntono yali yeegaana Mukama we, ng'alayira nti omusajja oyo tamumanyi. Baalwawo nnyo okutegeera ekigambo kya Mukama nti ku lunaku olw'okusatu oluvannyuma lw'okukomererwa kwe alizuukira mu bafu, ne beebuuza era ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti “okuzuukira mu bafu kutegeeza ki.”45 Ddala, baali tebalina kukkiriza n'okutuuka ku ssa nti oluvannyuma lw'okufa kwe, n'omulambo gwe okuteekebwa mu ntaana ya Yusufu empya, baateekateeka eby'okugusiiga eby'akaloosa. Essuubi nga liweddewo—nga liziikiddwa ne Kristo mu ntaana—olunaku olwo olwa Ssabbiiti nga lwali lunaku lwa nnaku nnyo eri abayigirizwa! Emitima gyabwe nga gizitoowereddwa ennaku n'okuggwaamu essuubi, nga tebali kumpi na Mulokozi wa kisa era omusaasizi, eyamala obulamu bwe ng'akola ebikolwa eby'okwagala n'okusaasira, okubagumya n'okubazzaamu amaanyi, nga baali mu kiwuubaalo kinene!
GSAM 69Ebyaliwo Ebyacamula Abantu ku Makya g'Okuzuukira
GSAM 69.1Obudde bw'oku makya g'olunaku olusooka mu wiiki bukedde! Nga waliwo okwenyigira mu bikolwa kungi mu ggulu ne ku nsi! Malayika ow'amaanyi akka okuva mu bifo eby'ekitiibwa n'ajja ku ntaana ya Yusufu, ng'alina obubaka obulagira Omwana wa Katonda agolokoke. “Kale, laba, ne wabaawo okukankana kw'ensi kunene: kubanga malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja okuva ku mulyango, n'alituulako. Amaaso ge gaali ng'okumyansa kw'eggulu, n'ebyambalo bye nga byeru ng'omuzira; era olw'okumutya abakuumi ne bakankana, ne baba ng'abafu.”46 “Emibiri mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukira, ne bava mu ntaana oluvannyuma lw'okuzuukira kwe, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, ne balabikira bangi.”47 Lowooza ku bakyazi abalinga abo mu Yerusaalemi, nga batuuka ku nzigi za mikwano gyabwe, n'obubaka nti Kristo eyakomererwa azuukidde mu bafu, era nti nabo bazzeemu obulamu olw'amaanyi ge, balyoke babe abajulirwa b'okuzuukira kwe. Nga abayigirizwa n'abakazi abatukuvu baali mu kutambula kungi—nga badduka eruuyi n'eruuyi okubuulira amawulire amalungi nti, “Azuukidde mu bafu, kubanga tumulabye era twogedde naye!”
GSAM 69Yesu Atambula Agenda mu Byalo
GSAM 69.2“Kale, laba, babiri ku bo baagenda ku lunaku olwo lwennyini mu kyalo ekiyitibwa Emawo, ekyali ewala okuva e Yerusaalemi nga ffulongo nkaaga [mayiro musanvu n'ekitundu]. Ne banyumyaganya ku ebyo byonna ebyali bibaddewo. Awo olwatuuka, bwe baali banyumyaganya nga bakubaganya ebirowoozo, Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula nabo. Naye amaaso gaabwe ne gaziyizibwa obutamutegeera. N'abagamba nti, Bigambo ki bino bye mwogera mmwekka na mmwekka nga mutambula, era nga munakuwadde? Omu ku bo, erinnya lye Kuleopa, n'amuddamu n'amugamba nti, Ggwe wekka omugenyi mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaddemu mu nnaku zino? N'abagamba nti, Bintu ki? Ne bamugamba nti, Ebya Yesu ow'e Nazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bikolwa ne mu bigambo mu maaso ga Katonda n'abantu bonna; era bakabona abakulu n'abafuzi baffe bwe baamuwaayo asalirwe ogw'okufa, ne bamukomerera. Naye twali tusuubira nti ye yali agenda okununula Isirayiri; era ku ebyo byonna, leero lunaku lwa kusatu bukya bino bibaawo. Era n'abakazi abamu ab'omu kibiina kyaffe baatwewuunyisa, abaakedde ennyo ku ntaana; bwe bataasangayo mulambo gwe, ne bajja nga bagamba nti era baalabye okwolesebwa okw'abamalayika, abaabagambye nti mulamu. Era abamu ku abo abaali naffe baagenda ku ntaana, ne basanga nga bwe kiri ng'abakazi bwe baagamba; naye ye tebaamulaba.
GSAM 70.1“Awo n'abagamba nti, Mmwe abasirusiru, era abalina emitima egirwawo okukkiriza byonna bannabbi bye baayogera: Kristo teyali ateekwa okubonaabona bino, alyoke ayingire mu kitiibwa kye? N'atandikira ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abannyonnyola mu Byawandiikibwa byonna ebyali bimwogerako.”48 Bwe yali anaatera okulya nabo, yamenya omugaati ne yeebaza, “amaaso gaabwe ne gazibuka, ne bamutegeera.... Ne bagambagana nti, Emitima gyaffe tegyaka munda mu ffe, bwe yali ayogera naffe mu kkubo, era bwe yali atubikkulira Ebyawandiikibwa?”49
GSAM 70.2Kaakano, oluvannyuma lw'okubannyonnyola ensonga mu bujjuvu, abayigirizwa batuuse okulaba nti okufa n'okuzuukira byali bigattiddwa ku mulimu gw'Omulokozi. Naye ensonga y'obwakabaka bwe banaagitunuulira batya?
GSAM 70.2“Yabeeraga nga mulamu oluvannyuma lw'okubonaabona kwe n'obukakafu bungi obutabuusibwabuusibwa, nga bamulaba okumala ennaku amakumi ana, ng'ayogera eby'obwakabaka bwa Katonda; era bwe yakuŋŋaana nabo, n'abalagira obutava mu Yerusaalemi, naye balindire ekisuubizo kya Kitaffe, kye yagamba nti, Mwakiwulira ku nze. Kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu nga wayise ennaku si nnyingi.
GSAM 71Kaakano Onazzaawo Obwakabaka?
GSAM 71.1“Awo bwe baakuŋŋaana, ne bamubuuza nga bagamba nti, Mukama waffe, mu kiseera kino onazzaawo obwakabaka eri Isirayiri? [nga bagamba nti, Twayize nti kyali kigwanidde okukomererwa n'okuzuukira mu bafu, ng'Ebyawandiikibwa bwe byogera, naye kaakano togenda kuzzaawo bwakabaka?] N'abagamba nti, Si kyammwe okumanya ebiseera oba entuuko, Kitaffe bye yassa mu buyinza bwe yekka. Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe: era muliba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi. Bwe yamala okwogera ebyo, nga bakyatunula, n'atwalibwa waggulu; ekire ne kimutwala n'atabalabikira nate. Era bwe baali batunuulira enkaliriza mu ggulu ng'agenda waggulu, laba, abasajja babiri ne bayimirira okumpi nabo nga bambadde engoye enjeru; nabo ne bagamba nti, Mmwe abasajja Abaggaliraaya, kiki ekibayimirizza nga mutunuulira mu ggulu? Yesu ono yennyini atwaliddwa okuva gye muli okugenda mu ggulu, alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.”50
GSAM 71Yesu Anaabeera mu Ggulu Okutuusa Ebyonna Lwe Birizzibwawo
GSAM 71.2Kaakano ng'Omulokozi amaze okubavaako, era nga ddala bamulabye “ng'ayambuka gye yali olubereberye,” baali bakakafu nti Omwoyo Omutukuvu alibayigiriza ku kiseera obwakabaka lwe bulijja. Noolwekyo Peetero, ng'ayigiriza abantu oluvannyuma lw'okuweebwa Omwoyo, yagamba nti, “Alituma Yesu Kristo, eyabuulirwa gye muli olubereberye: eggulu gwe liteekwa okusembeza okutuusa ebiseera eby'okuzzaawo ebintu byonna, Katonda bye yayogera mu kamwa ka bannabbi be bonna abatukuvu okuva ensi lwe yatandika.”51
GSAM 71.3Omwoyo Omutukuvu era yategeeza omutume Peetero ebikwata ku nsi essatu: Esooka, eyo eyaliwo ng'amataba tegannabaawo, eyazikirizibwa amazzi; ey'okubiri, ensi eriwo kaakano eterekeddwa omuliro—omuliro oguterekeddwa mu nsi, nga bwe kisomeka mu Nkyusa Ennungooseddwa—omuliro ogwo ogulivaamu okuzikirira, okumenyeka, n'okuggwaawo kw'abantu abatatya Katonda; ey'okusatu, ensi empya, “obutuukirivu mwe bubeera;” oba, nga abamu bwe bavvuunula nti, “abatuukirivu mwe balibeera.”52
GSAM 72.1Omutume Pawulo yannyonnyola okuzuukira kw'abantu ba Katonda, n'okukyusibwa kw'abatukuvu be bonna okuva mu mbeera ey'okufa okufuuka abatayinza kufa, “mu kutemya kw'eriiso, ku kkondeere ery'enkomerero.” Yategeeza Abakkolinso nti Kristo kaakano ali ku ntebe ya Kitaawe, era alibeera eyo okutuusa abalabe be bonna lwe baliteekebwa wansi we. Kwe kugamba, okutuusa Kitaawe lw'alimukwasa obwakabaka—obwakabaka bwe—nga bwe kyalagulwa mu Danyeri 7:13, 14; Zabbuli 2:8, 9. Eri ekkanisa ey'omu Sessaloniika, yayanjula okujja kwa Kristo n'okuzuukira ng'essuubi lyabwe lyokka, era nga mwe muli okubudaabudibwa okw'amazima, abaagalwa baabwe bwe baabaggyibwako omukono gw'okufa.53
GSAM 72Ekiseera ky'Okukomawo kwa Mukama Tekinnamanyibwa
GSAM 72.2Okutuusa mu kiseera ekyo, ekkanisa yali tennamanya bulungi kiseera Mukama lw'alikomawo. Omutume bwe yagamba mu bbaluwa ye esooka eri Abasessaloniika nti, “Ffe abalamu abasigalawo tulinyakulibwa,” ab'oluganda baategeera nti yali ategeeza nti Kristo ajja kujja nga abamu ku bo bakyali balamu. Mu bbaluwa ye ey'okubiri atereeza okutegeera kwabwe okukyamu okw'ebbaluwa ye, n'abagamba nti, “olunaku olwo terulijja, okujjako ng'okuva mu kukkiriza kusoose kujja, era omuntu ow'ekibi abikkuliddwa, omwana w'okuzikirira; oyo awakanya era eyeegulumiza okusinga byonna ebiyitibwa Katonda, oba ebisinzibwa.”54
GSAM 72Okuva mu Kukkiriza
GSAM 72.3Era ekkanisa ekyalekebwa okutambulatambula mu kizikiza ku bikwata ku kiseera ky'okujja kwa Kristo omulundi ogw'okubiri. Ab'oluganda baali bayize nti walibaawo okuva mu kukkiriza; naye ekibuuzo kyali nti kulimala bbanga ki. Oluvannyuma Yokaana yaweebwa eky'okuddamu ng'ali mu kwolesebwa ku kizinga ky'e Patumo, mu bubonero obuli mu ssuula ey'ekkumi n'ebbiri n'ey'ekkumi n'essatu ez'Okubikkulirwa—“ekiseera, ebiseera, n'ekitundu,” “emyezi amakumi ana mu ebiri,” “ennaku lukumi mu bikumi bibiri mu nkaaga” (emyaka); naye ekikolwa ekyali kigenda okutegeeza entandikwa y'ekiseera ekyo ekiwanvu kyali tekinnabaawo. Noolwekyo ekkanisa yali ekyasuubira era ng'elindirira okujja kwa Kristo nga temanyidde ddala kiseera kyennyini eky'okulabika kwe; kubanga ekiseera ekyo eky'ekibonyoobonyo bwe kyandiyise, ekkanisa y'“abasigaddewo” yandisigazzaayo akaseera akatono ak'okulwana n'okuwangula.55
GSAM 73.1Ebyawandiikibwa eby'Endagaano Empya bwe bikomekkerezebwa, ensonga y'okujja kwa Kristo omulundi ogw'okubiri etuteekebwa mu maaso mu ngeri etegeerekeka. Nga olunyiriri lumu ku buli nnyiriri amakumi asatu lwogera mu ngeri emu oba endala ku kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo omulundi ogw'okubiri. Ku nsonga eno, n'embeera y'ekkanisa ku bikwata ku ssuubi eryo mu mirembe gyonna okutuukira ku biro bino, Robert Patterson, D.D., ayogera mu lupapula lw'amawulire oluyitibwa Interior, wansi w'omutwe ogugamba nti “Essuubi Ery'Omukisa,” bw'ati:—
GSAM 73Emyaka Olukumi egy'Obulamu bw'Ensi—Patterson
GSAM 73.2“Mukama waffe bwe yaleka ekkanisa ye ku nsi okugenda eri Kitaawe, yagireka mu mbeera ey'ennaku. Abayigirizwa be ebikumi ebitaano baali beetooloddwa ensi yonna ey'abalabe be, abaali mu madiini ne mu gavumenti eziwakanya Kristo nga bategekeddwa omu ku bitonde ebisinga amagezi, ekyali kijjudde obukyayi obw'obulabe obusinga obunene, era nga kiyigiriziddwa obumanyirivu bw'emirembe mingi engeri ezisinga okukola obulungi mu kuzikiriza. Mukama yali amanyi akabi ke twali tulimu; era mu kwogera kwe okw'enkomerero teyakalaga ng'akatono, wadde okusuubiza okukendeera kw'obulabe bw'ensi n'ekibonyoobonyo ky'ekkanisa. Naye yasuubiza nti ye yennyini alikomawo okuwangula abalabe be, era nti alituwanirira okutuusa ku lunaku olwo olw'omukisa. ‘Ensi ebakyawa. Mu nsi muliba n'ekibonyoobonyo. Mulikaaba era mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka. Mulinakuwala, naye ennaku yammwe erifuuka essanyu.... Kale nammwe kaakano mulina ennaku, naye ndibalaba nate, emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu aliribaggyako. Bwe ndigenda, ndikomawo ne mbatwala gye ndi, nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.’
GSAM 74.1“Eryo lye lyali essuubi ery'omukisa ery'okukomawo kwe yennyini, lye yabudaabudisa ekkanisa ye bwe yali agenda okugivaako yennyini. Yagamba nti mu kiseera kyonna ky'ataalibeerawo tuteekwa okubonaabona ekibonyoobonyo; era bwe kityo bwe kibadde. Bwe tunaabeera n'ekiseera kyonna eky'emirembe mu by'ensi ng'akyali ataliwo, oba ekkanisa ye bw'eneewonyezebwa okulumbibwa kw'ensi, oba bwe wanaabaawo omulembe gw'obutukuvu ekkanya mwe litalikulira mu ŋŋaano, oba bwe bajja okumwaniriza ng'azze, abantu b'ensi ejjudde ekitiibwa kya Mukama, oba ddala bw'anaasobola n'okusanga okukkiriza ku nsi, kijja kumwewuunyisa nnyo, kubanga tajja kuba akisuubidde n'akatono. Yesu yali tamanyi myaka gino olukumi. Tugamba nti yali tagimanyi, kubanga teyatubuulira ku gyo; era agamba nti, ‘Mbayise mikwano gyange, kubanga byonna bye nnawulira ku Kitange mbibategeezezza.’ Naye mu kwogera kwe kwonna ne mu ngero ze temuli kabonero na katono akalaga nti tulina okusuubira ekiseera kyonna eky'emirembe oba eky'ekitiibwa nga tannajja. Abatume nabo tebamanyi myaka olukumi Kristo mw'atalibaawo. Okumala emyaka ebikumi bisatu oluvannyuma lwa Mukama waffe okugenda, essuubi ery'omukisa ery'ekkanisa lyali ssuubi lya kukomawo kwe.
GSAM 74.2“Naye okuva mu kukkiriza okw'ekkanisa okwalagulwa bwe kwagenda mu maaso, omugole wa Kristo bwe yatandika okwebudaabuda nga Kristo taliwo olw'omukwano ne bakabaka b'ensi, mu ngeri ey'obutonde yaggyayo amaaso ge ku ggulu ery'ebuvanjuba, ne ku kukomawo kwa Mukama we, okwandikomye ku kitiibwa kye eky'ensi. Abalongoosa b'Ekkanisa bwe baateeka ekkondeere ly'enjiri ku mimwa gyabwe ... ebirooto eby'emyaka olukumi Kristo mw'atalibaawo ne bitwalibwa amangu ago, ... era ekkanisa n'eddamu okutunuulira okujja kwa Mukama okuzikiriza omulabe wa Kristo.... Mu bbaluwa zaabwe, mu kubuulira kwabwe, ne mu byawandiiko byabwe eby'okwatula okukkiriza, Abalongoosa b'Ekkanisa baalangirira essuubi lyabwe ery'okujja kwa Kristo ng'emyaka olukumi teginnabaawo.
GSAM 74.3“Olukiiko lw'e Westminster lukomekkereza okwatula kwalwo okw'okukkiriza n'okulangirira okukkiriza kwabwe mu kujja kwa Mukama omulundi ogw'okubiri, mu bigambo ebyolesa mu bujjuvu okukkiriza kw'abo abakkiriza nti Kristo alijja ng'emyaka olukumi teginnabaawo. Balangirira mu bigambo bino ebizito nti: ‘Nga Kristo bw'ayagala tube nga tukakasiddwa ddala nti walibaawo olunaku olw'omusango, abantu bonna balyoke beewale ekibi, era n'abo abatya Katonda bafune okubudaabudibwa okusingawo mu bizibu byabwe, bw'atyo era ayagala abantu obutamanya lunaku olwo, balyoke baggyeko okwesiga kwonna okw'omubiri, era babeere batunula bulijjo, kubanga tebamanyi ssaawa Mukama gy'alijjiramu; era babeere beetegefu bulijjo okugamba nti, Jjangu, Mukama Yesu: era jjangu mangu!’56
GSAM 75.1“Bajjajjaffe abaalongoosa ekkanisa baagumya emitima gyabwe nga batunuulira okujja kwa Mukama, era ne bazziŋŋanamu amaanyi n'okukoowoola nti, ‘Munywerere mu lutalo! kubanga ajja n'amaggye mangi ag'okutuyamba,’ ekirowoozo ekyaakateekebwa mu luyimba olw'okuzuukusa okukkiriza oluyimbibwa abantu bangi, naye ekyali kimanyiddwa abaamala edda ab'e Scotland abeeyama okukwata endagaano.
GSAM 75.2“Naye tewaayita bbanga ddene, okuva mu kukkiriza okw'omulundi ogw'okubiri ne kutandika mu makanisa agaalongoosebwa. Mu Scotland kwamanyibwa ng'enjigiriza ey'okukwata ekkubo ery'omu makkati; mu Bungereza, ng'enjigiriza ya Ariyo, era mu biro ebyaddirira ng'enjigiriza ey'ekkanisa ekkiriza endowooza ez'enjawulo; mu Amerika kweeyita enjigiriza ey'obumu bwa Katonda obutali bwa Busatu; ne mu Bugirimaani, enjigiriza ey'okwesiga amagezi g'abantu. Bwe kwateeka amagezi g'abantu ng'omulamuzi, n'ebyo byokka bye tulabye mu biro bino, ebitono ennyo, ng'obujulizi, era ne kugaana nti ekintu kyonna kiyinza okubaawo okuggyako nga kigoberedde amateeka g'obutonde agalabiddwa, ne kussa Yesu ku ddaala ly'omuyigiriza w'eddiini Omuyudaaya, eyali asinga katono abantu b'omulembe gwe, naye nga tamanyi n'akatono eby'obutonde ebiyigiddwa mu biro bino. Kya lwatu nti ekirowoozo eky'omuntu ng'oyo okukomawo okuva mu nsi etalabika okufuga ku nsi kyateekebwa mu nfumo z'Abaebbulaniya.
GSAM 75Daniel Whitby ku Myaka Olukumi
GSAM 75.3“Ebisuubizo by'okujja kwe omulundi ogw'okubiri n'okufuga ku nsi byavvuunulwa nga bitegeeza okubuna kw'enjiri ye kwokka, n'ekitundu ekinene eky'ensi okugondera Obukristaayo okumala emyaka lukumi, oba, ng'abamu bwe baalowooza, emyaka 360,000; mu kiseera ekyo abantu nga bagenda kukulaakulana mu bukugu obw'obulamu obw'obugunjufu, era banyumirwe emirembe n'obugagga ebitabangawo. Era ku nkomerero y'ekiseera ekyo ekiwanvu, ekinene ennyo ebirowoozo by'omuntu owa bulijjo ne bitasobola kukitegeera, mpozzi wandibaddewo okwetabuka okunene mu butonde, era ne kigambibwa nti Mukama alijja n'azikiriza ensi, n'ayita abantu bonna okusalirwa omusango. Endowooza eno yannyonnyolwa mu bujjuvu era n'ebunyisibwa omunnyonnyozi w'Ebyawandiikibwa Omungereza erinnya lye Whitby [Daniel Whitby yafa mu 1726], ebbaluwa ze ezaafulumizibwa eziraga nti yali mugoberezi w'enjigiriza ya Ariyo, naye ng'ennyonnyola ze zaagalwa abantu ab'ekika kye, era emyaka olukumi gye egy'olufumo ne gikakasibwa n'essanyu bangi ku abo abakkiriza enjigiriza ezikkirizibwa amakanisa, abaaweebwanga ensimbi ez'okubabeezaawo amakanisa g'eggwanga ag'omu Bulaaya, ne mikwano gy'amakanisa ago, kubanga endowooza eyo yabasuubiza ekiseera ekiwanvu eky'okufuna ekimu eky'ekkumi n'ebitiibwa. Olw'obuyinza bwabwe, endowooza eno yaleetebwa mu Amerika, gye yakozesebwa amangu ago ng'ebigambo ebya bulijjo eby'okwogerera ku bituuti n'okukomekkereza okwogera.”
GSAM 76.1Endowooza ezo ze zaali mu bitundu eby'enjawulo eby'ensi nga tusemberera ekiseera Mukama mwe yaweereza okulabula okw'ekitiibwa ku kujja kwe, nti ali “ku nzigi” ddala.
Notes
- Abaggalatiya 4:4, 5. ↩
- Abaruumi 16:25-27. ↩
- Abeefeso 3:3-9. ↩
- Oyo Eyeegombebwa Emirembe Gyonna, empapula 29, 30-34. ↩
- Lukka 2:26. ↩
- Lukka 2:28-38. ↩
- Lukka 3:15-17. ↩
- Yokaana 1:29-34. ↩
- Matayo 3:16, 17. ↩
- Yokaana 10:41. ↩
- Lukka 3:23. ↩
- Lukka 4:16-21. ↩
- Makko 1:15. ↩
- Ebikolwa 10:38; Yokaana 3:2. ↩
- Yokaana 14:8-11. ↩
- Oyo Eyeegombebwa Emirembe Gyonna, olupapula 215. ↩
- Lukka 7:19-22; Matayo 11:4. ↩
- Matayo 4:17. ↩
- Matayo 10:7. ↩
- Lukka 10:9. ↩
- Yokaana 7:46. ↩
- Matayo 12:23. ↩
- Matayo 13:54, 55. ↩
- Yokaana 10:24. ↩
- Yokaana 6:15. ↩
- Yokaana 6:62. ↩
- Matayo 16:20-22; Makko 9:31. ↩
- Matayo 16:28; Lukka 9:27. ↩
- 2 Peetero 1:16-19. ↩
- Matayo 17:22, 23. ↩
- Matayo 18:1; Makko 9:33, 34. ↩
- Matayo 19:27, 28; Lukka 22:28-30. ↩
- Matayo 20:20-24. ↩
- Yokaana 11:47, 48. ↩
- Yokaana 12:15. ↩
- Yokaana 12:19. ↩
- Lukka 19:40. ↩
- Yokaana 12:32-34. ↩
- Yokaana 13:33-36. ↩
- Yokaana 14:1-3. ↩
- Lukka 19:11-15. ↩
- Matayo 24:3, ↩
- Matayo 24; Lukka 21; Makko 13. ↩
- Makko 14:50. ↩
- Makko 9:10. ↩
- Matayo 28:2-4. ↩
- Matayo 27:52, 53. ↩
- Lukka 24:13-27. ↩
- Lukka 24:31, 32. ↩
- Ebikolwa bya Batume 1:6-11. ↩
- Ebikolwa bya Batume 3:20, 21. ↩
- 2 Peetero 3:5-13. ↩
- 1 Abasessaloniika 4:13-18. ↩
- 2 Abasessaloniika 2:3, 4. ↩
- Okubikkulirwa 12:17. ↩
- Okwatula Okukkiriza, Essuula 33, ekitundu 3. ↩